Ebyobulamu

Temunywa juyisi mupakire

Ali Mivule

March 19th, 2014

No comments

juice

Abanywa juyisi omupakire mu bipappula n’obucupa bassa obulamu bwaabwe mu matigga.

Abakugu mu byobulamu bagamba nti yadde juyisi wa mugaso eri obulamu, juyisi owa bulijjo yasinga buli kimu.

Dr. William Lumu nga ye ssentebe w’ekibiina ekirwanyisa sukaali agamba nti juyisi omupakire abaamu sukaali mungi era ng’abantu tebasaanye kumwesembereza.

Awadde abantu amagezi kunywa juyisi omukamule okuva mu bibala era bamunywereewo.

Kyokka Dr Lumu agamba nti n’okulya ennyo ebibala oba okunywa enyo Juyisi ssi kirungi.