Ebyobulamu

Temwambala mpale na buleega bukadde

Ali Mivule

July 25th, 2014

No comments

Bra

Abakyala abasinga obungi bettanira okugula engoye enkadde omuli n’ezo omunda naye okimanyi nti engoye ezo zabulabe eri obulamu bwo.

Abakungu mu by’obulamu bagamba nti obuwale obukadde wamu n’obuleega buyinza okuviirako abakyala okulwala endwadde z’ensusu.

Omusawo okuva mu ddwaliro ye Mulago Benedict Nassuna, agambye nti obugoye buno buyinza okuviirako omukyala okusiiyibwa wansi okufuna ebutulututu, wamu ne kandinda.

Wabula Nassuna agambye nti omukyala bw’aba tasobola kwewala bugoye buno, yandibadde abwooza nga tannabwambala.