Ebyobulamu

Temwerumya njala

Ali Mivule

September 25th, 2013

No comments

skipping meals

Okwerumya enjala omuntu n’atalya mmere kyabulabe eri obulamu.

Omusawo omukugu mu nsonga z’emitima, Wilson Nkyakoojo agamba nti obutalya kivaako omubiri okuzaala amasavu mu mubiri omuntu n’agejja ekimuviirako okufuna obulwadde bw’omutima.

Omusawo ono agamba nti abantu bangi ennaki zino beerumya nnyo enjala ate ng’abamu bakigenderera naye nga baba bakosa bulamu bwaabwe.