Ebyobulamu
Temwooza nkoko- basawo
Obadde okimanyi nti okwooza enkoko ngogenda okugifumba kyabulabe.
Abantu balina ensonga za njawulo ezibakozesa kino ng’abamu bakikola kuyonja nkolo eno, abalala kujjako buwuka ate abalala bakikola kubanga bakula bakiraba
Abasawo abakugu mu by’emmere wansi w’ekibiina kya FSA bagamba nti enkoko zibaako obuwuka nga busobola okusigala ku ngaloz ‘omuntu, okukwatira ku ngoye oba wansi.
Obuwuka buno bwebuyingira omuntu busobola okumulumisa olubuto, okumusesemya, okuddukana oba nandi ki n’okufa
Obuwuka buno ate bwabulabe nnyo ku baana okusnga ku bakulu
Bano kati bataddewo ssabbiiti nnamba bwebagenda okuyita okulabula abantu ku kabi akali mu kwooza enkoko