Ebyobulamu

Teri Ambulensi masaka

Ali Mivule

May 4th, 2015

No comments

Ambulensi at work

Abakulira eby’obulamu m disitulikiti ye Masaka beralikirivu olw’ebitundu ebiwerako mu disitulikiti eno obutaba na motoka zitambuza balwadde ezimanyiddwa nga zi ambulensi.

Kino kibikuddwa akulira eby’obulamu mu disitulikiti eno Dr. Stuart Musisi mu kuwaayo ambulance ku ddwaliro lya Bulamu mu tawuni ye Masaka.

 

Dr Musisi agamba n’eddwaliro ekkulu e Masaka terilina mmotoka zino sso nga abantu okuva mu disitulikiti 8 balikozesa era neyebaza eddwaliro lya Bulamu okufuna emmotoka eno.

 

Agamba amalwaliro agasinga gakozesa mmotoka zi kabangali nga ezitasaana kutambuza balwadde olw’enguudo okubeera mu mbeera embi.

 

Ssentebe wa disitulikiti ye Masaka Joseph Kalungi naye asanyukidde ekiowoozo ky’eddwaliro lya Bulamu okufuna ambulance zino nti kyakutumbula ebyobulamu mu disitulikiti eno.

 

Ye akulira eddwaliro lino erya Bulamu Dr Bulasio Kabugo agamba baasazewo okugulayo emmotoka eno kubaga baakizudde nga abalwadde mu masoso g’ebyalo bwebafuna obuzibu mu kuletebwa mu malwaliro agali mu bibuga okufuna obujanjabi.

 

Ategezezza nga kino bwekigenda okuwonya abalwadde banji okutambuzibwanga ku bodaboda ne zi kabangali.