Ebyobulamu
Teri kusasula tooyi
Abaana abali wakati w’omwaka 1- 15 bawereddwa omukisa okukozesa kabuyonjo ku bwerere mu bitundu bye Katanga.
Kino kikoleddwa okukendeza ku kumansa kazambi mu kitundu kino.
Ssentebe w’ekyaalo, Hassan Wasswa agamba nti abaana bano babadde basanga obuzibu okufuna webeyambira olw’ensonga nti eziriyo za ssente.