Ebyobulamu
Teri kutunda maama Kiiti
Minisitule y’ebyobulamu eyisizza ekiragiro ekikwata abasawo bonna abaguza abakyala b’embuto maama kit
Minisita omubeezi akola ku byobulamu Dr. Chris Baryomunsi agamba nti bu maama kiiti buno bwabwereere era omukyala yenna agenda mu ddwaliro lya gavumenti nebabumuguza asaanye okuwaaba
Baryomunsi bino ebyogedde alabiseeko mu kakiiko akakola ku bya mukenenya ategeezezza nga bwebalina maama kiiti ezimalako omwaka guno gwonna ate ku bwereere
Maama kit ebaamu akasuuka, akaveera, pamba, ejjirita,ssabbuuni n’ebirala byonna ebyetaagibwa omukyala azadde