Ebyobulamu
Teri kuwa baana nyanto- Mexico
Gavumenti y’eggwanga lya Mexico eweze amata g’abaana abawere agatundibwa mu malwaliro okusobola okutumbula enkola y’abamaama okuyonsa abaana baabwe.
Kati okufuna amata gano agaba gatabuddwamu ebirungo by’abaana omusawo alina kusooka kukakasa nti ddala tolina mabeere okugagula mu maduuka.
Abakyala mu ggwanga lino batono abaagala okuyonsa abaana baabwe nga omukyala omu ku musanvu bebayonsa abaana mu myezi mukaaga egisooka.
Ekitongole ky’ebyobulamu munsi yonna kiragira omukyala okuyonsa omwana wakiri emyezi mukaaga egisooka okusobola okukula obulungi.