Ebyobulamu

Teri mifaliso Kabale

Ali Mivule

December 9th, 2014

No comments

Kabale hospital

Ab’obuyinza e Kabale bayisizza ekiragiro ekiyimiriza abalwadde n’ababalabirira okutwaala emifaliso nga baweereddwa ebitanda.

Kino kikoleddwa kukendeeza mujjuzo.

Akulira eddwaliro lye Kabale Dr. Placid Mihayo agamba nti abalabirira abalwadde babadde bayitirizza okwebakiriza mu nkuubo  nga n’abamu beebaka wansi w’ebitanda by’abalwadde.

Eddwaliro lye Kabale lifuna abajjanjabi abawera okuva mu bitundu bye Kanungu, Kisoro, Rukungiri , Kabale n’ebitundu ebirala

Ebyo nga biri bityo, kansala w’egombolola ye Ruhija mu disitulikiti ye Kabale Christopher Ngabirano awaddeyo emmotoka kika kya land cruiser ebalirirwaamu obukadde 40 okuyamba okutambuza abalwadde ababa basindikiddwa mu ddwaliro ekkulu e Kabale ne mu malwaliro amalala

Ono akikoze oluvanyuma lw’abantu okwemulugunya nti ambulensi gyebaalina balina yafa emyaka esatu emabega nga kati bakozesa w’emitwalo 20 oba 30 okuddusa abalwadde mu malwaliro