Ebyobulamu
Tewali ddagala liweweza mukenenya
Ebbula ly’eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa mukenenya litandise okuluma abalyetaaga
Mu malwaliro agasnga gyebalaga okulifuna babagobawo.
Akulira ekibiina ekigatta abantu abalina obulwadde buno Margret Happy agamba nti aba Busia beebasinze okukosebwa ng’ab’eddwaliro ekkulu katia te bazze mu bulwaliro butono.
Ono asabye gavumenti okwetegereza okulaba amalwaliro agakoseddwa gasindikibweemu eddagala
SSabiiti ewedde, minister omubeezi akola ku byobulamu, Ellioda Tumwesigye yakkiriza nti eddagala lino libuze kyokka nga yye yakissa ku bantu abangi abapya abakozesa eddagala lino abeeyongedde.