Ebyobulamu

Tewali ddagala

Ali Mivule

August 1st, 2013

No comments

ARVs

Ministry y’ebyobulamu enyonyodde ekivudde ebbula ly’eddagala lya ARVs mu malwaliro ga gavumneti

Minister omubeezi ow’ebyobulamu, Ellioda Tumwesigye agamba nti kino kivudde ku bantu abamira eddagala lino okweyongera

Tumwesigye agamba nti balowooza ku bantu emitwalo 10 abapya okukozesa eddagala lino kyokka nga bakafuna abantu emitwaalo kkumi mwenda mu mwak aguno

Buli mwaka abantu emitwaalo kumi n’ena n’ekitundu beebafuna siliima okwawukanako n’abantu emitwaalo 13 mu mwaka 2000