Ebyobulamu
Tewali waterekebwa ddagala lya Kokoolo
Minisitule y’ebyobulamu etegeezezz nga bw’etalina w’etereka ddagala ligema kokoolo wa nabaana
Kokoolo wa nabaana y’asinga okukosa abakyala mu Uganda nga buli mwaka abakyala 2,464 bafa ate abali mu 3500 nebamufuna
Minisita akola ku byobujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti bakyakola ku ky’okuzimba ekifo w’okutereka eddagala lino basooke balowooza ku ky’okubeera n’eddagala lino okugema abantu.
Opendi wabula asabye abantu obutaggwaamu ssuubi ng’agamba nti omwezi gw’omwenda wegunaatukira nga bamalirizza buli kimu olwo batandike okugema abakyala kokoolo ono.