Ebyobulamu
Tewannabaayo mulala agufuna musujja guva ku nkwa
Tewanabaawo Muntu mulala efuna musujja oguva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean hemorrhagic fever mu district ye Agago
Akulira eby’obulamu mu district eno, Dr Emmanuel Otto agamba nti abantu abasatu abaweebwa ebitanda nabo baasibuddwa ku lunaku lw’omukaaga
Abantu bano bagyibwaako omusaayi neguvaayo nga gulaga nti tebalina bulwadde buno
Otto agamba nti kati kyebagaala kwekwongera okubangula abantu u ngeri y’okutangiramu obulwadde buno
Abantu 2 beebakafa bukyanga bulwadde buno bubalukawo omwezi oguwedde.