Ebyobulamu
Typhoid- amazzi g’obwereere gazze
Minisitule y’ebyobulamu ng’eri wamu n’aba mazzi yakussaawo amazzi g’obwereere eri bannakibuga bonna
Taapu ezisoba mu 40 zeezigenda okussibwaawo ng’ate teziggalwa kale ng’abantu bakusena amazzi nga bwebagaala
Kamisona akola ku by’okulondoola endwadde ebigwaawo Dr.Monica Musenero agambye nti kino bakikoze nga bali wamu n’aba mazzi okuyamba abantu okufuna amazzi amayonjo
Taapu zino zakussibwa mu katale ke Nakasero, mu paaka enkadde n’empya, ku miniprice mu paaka za baasi n’ebifo ebirala
Gwo omuwendo gw’abalina obulwadde bwa Typhoid gwongera kulinnya
Kati abantu 1483 beebakakasiddwa okuba n’obulwadde
Dr Monica Musenero agamba nti ku bano, abantu 322 beebakoleddwaako
Dr Musenero agamba nti jjo lwokka baafunye abantu 135 nga balina obulwadde buno.