Ebyobulamu
Uganda yaakutegeka olukungaana lw’amazzi
Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kyamazzi, National Water and Sewerage Cooperation, yakukyaza olukungaana, lwebitongole byamazzi, olwa African Water Association Conference, omwezi ogujja.
Olukungaana luno, lwakubumbujja okuva nga 24th okutkira ddala nga 27th February, wano mu Kampala.
Kati lusubirwa, okwetabwamu, abakungu bikumi na bikumi, okuva mu mawanga ga memba, 40.
Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde mu kitongole, olukungaana luno, lwakukubaganya ebirowoozo, ku nsonga ezenjawulo, ku mazzi.
Olukungaana luno, lubaawo buli luvanyuma, lwa myaka 2, ngolwasembayo lwali mu kibuga Bamako mu gwanga lya Mali.