Ebyobulamu
wiiki y’okuyonsa etongozeddwa
Minisitule y’ebyobulamu eteekateeka okussa envumbo ku kutunda emmere y’abaana ennongoseemu mu malwaliro
Minisita y’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti abantu abatunda emmere eno bakozesa olulimi lwonna olw’ebyobusuubuzi nga bagamba nti emmere nnungi nnyo eri abaana nebwebatayonsa ekintu ekijje abakyala ku kuyonsa abaana baabwe
Rugunda agamba nti okuyonsa y’emmere esinga eri abaana nga tewali mmere nongoseemu yonna eyinza kugisinga
Mu ngeri yeemu Minisita ayagala abakyala abayonsa nga bakola baweebwa ebifo webayonseza abaana baabwe
Rugunda agamba nti abakyala bangi abakola bagaala okuyonsa abaana baabwe naye nga tebasobola kubanga tebalina webakikolera