Ebyobusuubuzi
Aba mobile money baakuggalawo amaduuka gaabwe ku lw’okusatu.
Bya Ndaye Moses.
Bbo abakola akalimo aka mobile Money wano mu Kampala ne gwanga lyonna bategeezeza nga bwebagenda okuggala ebifo webakolera okutandika ku lw’okusatu luno, nga ono ye kaweefube ow’okulaga obutali bumativu olw’omusolo ogubanyigiriza.
Sabiiti ewedde omukulembeze we gwanga yalangirira nga omusolo ogwa nusu 1% bwegugidwawo, negusikizibwa 0.5%, kyoka era bano bagamba nti omusolo guno tegwetagiisa era nga sibakukola okutuusa nga gugidwawo.
Twogedeko ne ssentebe waabano abegattirwa mu Kampala mobile money dealer association Matthias Lukyamuzi nagamba nti bakikoze okulaga government nti embeera ebanyiga.