Ebyobusuubuzi

Aba MTN bagala gavumenti omusolo ku mobile money egujjewo

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2018

No comments

Bya Kyeyune Moses

Abomukuttu gwa MTN basabye akakaiiko ka palamenti akebyensimbi, okusuula ebbago lye nnongosereza ku musolo gwa mobile money.

Okusaba kuno kukoleddwa ssenkulu wa MTN Uganda, Wim Vanhelleputte bwabadde alabiseeko mu kakakiiko olwaleero.

Agambye nti ekisaawe kyokusindika ensimbi mu nkola eyokumasimu egenda ekulabukuzi mu Uganda ngomusolo nga guno, gwandikosa nokusanyalaza emirimu.

Agamba nti basolozebwa emirundi mingi okuili VAT owe 15%, Withholding tax, nomulala mungi.

Okuva omusolo ogwe 1% gwaletebwa mu July womwaka guno,  Vanhelleputte agambye nti bafiriddwa 30% okuva ku buwumbi 550 bwebafuna mu June.