Ebyobusuubuzi
Aba Paakayaadi bakaaba
Abasuubuzi bo mukatale ka Paakayaadi wowulira bino emitima gibewanise oluvanyuma lw’okuweebwa ekibaluwa eky’okubasengula nga 25 omwezi guno.
Bano nga bakulembedwaamu Chairman wabwe Kassimu Ssebaduka bagamba baweredwa ekibaluwa aba Ham building okutandiika okwewandisa okufuna emidala wagulu wekizimbe kino.
Bano baweze okwanganga oyo yenna anepanka nti abasengula nga si gavumenti.
Tutuseeko kukizimbe kya Ham Building nga emidaala egiri eyo mu 100 gyegyakalambibwa wabula nga abaddukanya ekifo kino baganye okubaako nekyebogera.
Mu kiseera kino paakayaadi erina abasuubuzi 12000.