Ebyobusuubuzi
Ababaka babanja luguudo lwe Tirinyi.
Bya Samuel ssebuliba.
Ababaka ba palamenti abava mu buvanjuba bwe gwanga bazeemu okuteeka government kuninga nga baagala ekole oluguudo olwa Nakalama –Tirinyi –Mbale lw’ebagamba nti luli mu mbeera mbi.
Kinajukirwa nti okukola oluguudo luno kwali kwaweebwa aba company ya Dot Service mu 2015, kyoka kontulakiti neebagibwako nga bagamba nti omulimo gubalemye.
Kati twogedeko n’ababaka okuli ow’e Kabweri Francis Gonahasa, ow’e Kumi Municipality Silas Aogon n’owe Manjiya John Baptist Nambeshe nebamba nti singa enaku 30 ziyita nga tebakoledwako ensonga bazitwala mu palamenti.