Ebyobusuubuzi
Abagoba ba baasi bakaaba
Bannayuganda abavuga baasi ezigenda e Kenya bongedde okukandula ku maloboozi nga bagaala buyambi bwa gavumenti
Okuva ssabiiti ewedde nga bagezaako kusisinkana bakulu mu gavumenti kyokka nga bakyalemereddwa
Bano nno ssi basanyufu nti gavumenti ya Kenya tebaagala bavuge kiro ate nga babakak n’okwewandiisa mu bibiina by’obwegassi mu ggwanga lya Kenya ekintu kyebatakkiriza
Akulira ekibiina ekgatta ba dereeva ba baasi , Fred Bahati agamba nti bannabyabusuubuzi bangi bakoseddwa kubanga bamanyiira kutambula kiro.
Ono era agamba nti n’eky’okubakaka okwegatta ku bibiina kikyaamu kubanga omuntu waddembe okwegatta ku kibiina ky’ayagala oba nedda