Ebyobusuubuzi
Abakozesa amasimu batabuse
Abakozesa amasimu mu ggwanga olwaleero baatuulidde abakkampuni z’amasimu beebagamba nti babbye
Mu Lukiiko lw’abakozesa amasimu olubadde mu kibuga, abantu becwacwanye nga bagamba bakooye empeereza embi
Bano basinze kwemulugunya ku masimu agataggwayo ate nebasalwaako ensimbi, obubaka obubawerezebwa ku masimu nga tebabusabye n’ensimbi za mmobile money enyingi
Olukiiko luno luzze ng’eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’abakozesa ebikolebwa nga lubaawo buli nga 15 omwezi ogw’okusatu
Wabula n’aba kkampuni z’amasimu omusnago bagusalidde gavumenti gyebagamba nti tekoze ku bintu by’enguudo,ate nga n’emirongooti gyaabwe kko ne generarator okwo kwossa cable zaabwe bibbibwa.
Minista omubeezi akola ku bya tekinologiya abadde mu Lukiiko luno asabye abantu okumanya kyebagaala kyokka baleme kulinda nkiiko, bemulugunye buli lwebafuna obuzibu okulaba nti kino kiggwaawo.