Ebyobusuubuzi
Abakozesa balabuddwa ku yinsuwa y’ebyobulamu
Bya Shamim Nateebwa
Abakozesa abanebalama okusasulira abakozi baabwe ensimbi eza yinsuwa yebyobulamu eye gwanga baakusasulanga engasi, nga bazikubisizaamu emirundi ebiri.
Olukiiko lwaba minister gyebuvuddeko lwayisa ebbago erya National Health Insurance Scheme Bill eryomwaka 2019, ngesaaw ayonna ligenda kuletebwa mu palamenti okutesebwako.
Muno buli mukozi owemyaka n’okudda waggulu wakusasulanga 1% ku musaala gwe.
Bwebabadde banjulira banamwulire ebbago lino, mu nisisnkano ne ministry yebyobulamu eya buli mwezi Dr Sarah Byakika, kamisona avunanyizbwa ku byokutekeratekera ministry yebyobulamu, alabudde nti abakozesa baakukagavvulwa.