Ebyobusuubuzi

Abakozi bakuwebwanga akasiimo kaabwe ku myaka 45

Abakozi bakuwebwanga akasiimo kaabwe ku myaka 45

Ivan Ssenabulya

April 9th, 2019

No comments

Bya Monitor

Abakozi baakutandika okufuna ssente zaabwe ezobukadde, ku myaka 45.

Ekiteeso kino kyayisiddwa olukiiko lwaba minister, okukola enomgosererza mu tteeka lya NSSF erya 1985.

Kati mu biralala emirmu gyekitavvu kyabakozi gyekudda wansi wa ministry eyekikula kyabantu, okuva mu ministry yebyensimbi, nga bwegubadde.

Bino bikaksiddwa minister webyemizannyo Charles Bakabulindi eranga mubaka wabakozi mu palamenti.

Mu kusooka abakozi babaddenga baweebwa ssente zaabwe zebaterekedde ebbanga, nga bkola ku myaka egyobukadde 55.

Kati mu kusooka wabaddewo okusaba okwenjawulo ku nsonga eno, abakozi bawebwenga ensako yaabwe nga bukyali.

Abamu babadden ga bakadiwa nebatuuka nokufa nga tebafunye ku ssente zebatereka obulamu bwabwe obwokukola bwonna.

Ebisingawo ku mboozi eno biri mu daily monitor w’olwaleero.