Ebyobusuubuzi
Abalimi betaaga ensawo okubawagira
Bya Ndaye Moses
Gavaumenti esabiddwa okubangawo ensawo eyenjawulo okuwagira abalimi, okuva ku nnima eyokulya, wabula betanire okulima okwebyobusubuzi okufuna ssente.
Gavumenti wetwogerera nga yabakana ne kawefube okutumbula ebintu ebikolebvwa wano, webatuuma Buy Uganda, Build Uganda.
Wabula okusinziiraku akulira ebyobusubuzi mu kampuni ya Harris international Ahmed-Hussein agamba nti entekateeka eno eyamba nnyi abalimi, nga batunda amakungula gaabwe eri amakolero.
Wabula agamba nti kyetagisa okuyita mu nsawo eno, nebongera amaanyi mu kulima kwabwe.