Ebyobusuubuzi

Abalimi e Bukomansimbi bagala gavumenti ebadukirire n’ensigo

Abalimi e Bukomansimbi bagala gavumenti ebadukirire n’ensigo

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye

Abatuuze ku byalo 5 mu district y’eBukomansimbi bakubidde gavument omulanga ebadukirire ebawe ensigo oluvanyuma lw’okugya nga basiga efunda eziwera naye ebirime byabwe ne bikala olw’enkuba okulwawo okutonya.

Ebyalo ebyasinga okukosebwa kuliko Lwemiriti, Mirembe, Bigasa Kasambya ne Makukuulu.

Bano bategezeezza nga okuva mu mwezi gw’okubiri babadde basiga buli lwe balaba ku kakuba wabula olumala okubitekayo tedamu kutonya olwo ne bikala ate bw’edamu okutonya neera ne basiga era ne bikala ekibavirideko okuba nti tebakyalina nsigo.

Kati bagala govt ebadukirire n’ensigo ez’omulembe ezisobola okugumira enkyukakyuka mu mbeera y’obudde.