Ebyobusuubuzi
Abasubuzi ku Nalule Arcade bekalakasizza
Bya Prosy Kisakye ne Benjamin Jumbe
Abasubuzi ku kizimbe kya Nalule arcade bagadde amadduuka gaabwe, nebasalawo okutuula butuuzi, wabweru nga bawakanya ekyomugagga okwongeza ebisale byobupangisa.
Bano bagamye nti omugagga Guster Lule yayongeza ebisale emyezi 3 emabega wabula nabasubiza okubiakakanyako, wabula kyakyaganye okukola.
Kitegezedwa nti abaali basasula emitwalo 50 yabongeza okudda ku mitwalo 90, abemitwalo 80 okudda ku kakadde 1 nemitwalo 60 atenga abaali basasula akakadde 1 nekitundu yabazza ku bukadde 2 nekitundu.A
Ate ssentebbe wakakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku byokuzimba, Eng Kafeero Sekitoleko asubizza nti bagenda kukwata bulungi ebbago lye tteeka ku zimbe, erya Landlord and Tenant Bill eryomwaka 2018.
Bino webijidde nga waliwo okusika omugwa mu kibuga, wakati wabangisa neba nanyini bizimbe.
Bwabadde ayogerako naffe omubaka Kafeero Ssekitoleeko akaksizza nti wiiki ewedde, baatandika okutunula mu bbago lino.
Ebbago lino lirubiridde okulungamya enkolagana wakati wabapangisa nebananyini bizimbe.