Ebyobusuubuzi
Abasuubuzi bakonkomadde
Ebikumi n’ebikumi byabasubuzi bakyakonkomalidde ku nsalo ya Uganda ne Sudan olw’enkuba efudemba obutasalako.
Enguudo okuli oluva e Atyak – Nimule terukyayitikamu nga n’emmotoka zikwamye olw’okusalwako amazzi.
Okusinziira ku sabawandiisi w’ekibiina ekigatta, abavuzi ba zi baasi abakolera e South Sudan Willy Katende, abantu batandise okwonoona mu mazzi gano nga kati waliwo okutya nti endwadde eziva ku bujama zandibalukawo.
Wano w’asabidde gavumenti ensonga okuziyingiramu nga embeera tenasajjuka.