Ebyobusuubuzi
Abatunda ettaka bagaala tteeka
Abakola omulimu gw’okugula n’okutunda ettaka wamu n’amayumba basabye gavumenti okwanguya etteeka ku mulimu gwabwe eribadde mu palamenti kati emyaka 5 .
Ssentebe w’abasuubuzi bano Andrew Mukiibi agamba etteeka lino lyakubayamba okukwatagana ne gavumenti okusobozesa bamufuna mpola okwefunira amayumba mwebasula.
Etteeka lino ligendereddwamu kulaba nga omulimu guno gukulakulana nga era minisita w’ebyettaka Daudi Migereko akkaanya nebano nti singa liyisibwa kyakuyamba okumalawo abafere aberimbika mu mulimu guno.
Agamba minisitule y’atandise dda okukola ku tteeka erinalambika bulungi enkola y’emirimu gyabano.