Ebyobusuubuzi
Abavubi ku Nyanja Nalubaale balangiridde okwekalakaasa
Abavubi ku Nyanja Nalubaale balangiridde
okwekalakaasa okunasuula nemiti nga bemulugunya ku musolo omugya
ogwabatekeddwako.
Bagambye bakusitula ebikola byabwe ppaka ku parliament bagala yeeba eyingira mu nsonga.
Omusolo guno gugenda kutandika okukola mu mwezi gwomunaana. Balayiriradde obutaddamu kukwata nkasi ssinga gavummenti teyekyusa.
Bano okuva ku myalo egyenjawulo bavumiridde ekya gavumenti okutiitiibya ba musiga nsimbi abagwiira, ate nebatulugunya ba nnansi saako abakozi ba gavumenti okusinziira mu zi ofiisi nebateebereza nokugereka emisolo egitasoboka.
Kidiridde ekitongole ekiwooza okugereka omusolo gwa bitundu 6% ku
bavubi bonna ku Nyanja Nalubaale. Ku mwalo gwe Katosi, abavubi wamu nabasubuzi bebyenyanja bawadde gavumenti ssalessale obutasukka 31 olwaleero okuba nga yefukuludde
kukyomusolo guno oba ssi ekyo bagenda kwolekera palamenti.
Mukasa
Bbosa ssentebe w’akakiiko akafuga omwalo ategezezza nti ebbeyi
y’ebyenyanja ekyuka buli kadde songa bakolera mu mabanja era bolekedde okusulawo mirimu gino.