Ebyobusuubuzi
Abe wa Ksiekka basasulwe
Abasuubuzi bomu katale ka Kisekka basabye kkooti enkulu eragire abakulembeze baabwe babaliyirire obuwumbi 5 nga babalumiriza okumenya emidaala gyabwe mu bukyamu nga ate emidaala gino webaali baggya eky’okulya.
Nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Brian Kalule, abasuubuzi banjo bategezezza omulamuzi Lydia Mugambe nga okumenya akatale kano bwekwanyomoola ekiragiro kya kkooti ekyasooka nga 19 December eky’obutabamenya nga omusango gwebasooka okuwaaba oguwakanya okubasengula gukyagenda mu maaso.
Kasule agamba abasuubuzi okuli Simon Lubwama, Robert Kisembo, Charles Sewanonda, Robert Magala n’abalala bawulirwa nga balagira abasuubuzi okumenya emidaala gyabwe yadde nga kkooti yali ebiganye.
Wabula bbo abakulira akatale kano nga bayita mu munnamateeka waabwe Kato Sekabanja basabye kkooti egobe omusango guno kubanga mpaawo bujulizi bulaga nti bebaamenya emidaala gy’abasuubuzi bano era beebagyemera benyini.
Kkooti yakuwa ensala yaayo nga 10 March omwaka guno.