Ebyobusuubuzi
Ab’omu kiyembe bakaaba misolo
Abasuubuzi mu kibuga kampala basabye ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue Authority okugereka emisolo nga basinziira ku bizinensi ki.
Abasuubuzi okuva mu kiyembe beebakoze okusaba kuno bwebabadde basisinkanye abakugu okuva mu kitongole ekiwooza.
Abamu ku basuubuzi betwogeddeko nabo bagamba nti emisolo gimala gagerekebwa gyebigweera nga gikosezza abamu
Yye atwala ekitongole kino Dorris Akol asuubizza okukola ku nsonga y’abasuubuzi bano kyokka nabo n’abasaba okunyiikira okuwa emisolo