Ebyobusuubuzi

Ba nekolera gyange mutondereewo abantu emirimu

Ba nekolera gyange mutondereewo abantu emirimu

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Ba nekolera gyange bajjukiziddwa nabo okutwala obuvunayzibwa obwokutondawo emirimu, eri abantu ssi kukinenya ku gavumenti yokka.

Bwabadde ayogerera lukungaana olwamakampuni agasajakudde olwa Top 100 olwaltegekeddwa Monitor Publications Limited, omusubuzi Patrick Bitature agambye nti gavumenti terina busobozi butondawo mirimu emirungi ate ejimala eri abantu baayo, kalenga obuvunaizibwa busigala kuba nekolera gyange.

Agam,bye nti business mu Uganda zikubagana olwabaguzi abatono, kyeyetolozza ngakizza ku bbula lyemirimu mu gwanga.

Akubidde ba nekolera gyange okwetikka ebyenfuna bye gwanga, ngobuvunayzibwa bwabwe.