Ebyobusuubuzi
Banabyanfuna balabude ku musolo gwa Mobile money ne Bank.
Bya Samuel Ssebuliba.
E bibiina by’obwanakyewa bisabye gavumenti okuddamu okwetegereza emisolo emipya gyeyagala okuteeka ku banayuganda mu mwaka guno ogwebyensimbi ogujja, kubanga egisinga gyakunyigga banayuganda.
Bwabadde ayogera ne banamawulire Nelly Busingye okuva mu kibiina kya SEATINI Uganda , agambye nti emisolo ku mobile money ko negitekeddwa ku nsimbi eziri mu bank gwabulabe nyo, eri eby’enfuna.
Mu musolo omupya ogw’alambikiddwa, e nsimbi ezigibwa kubasindika, ko n’abafunira ensimbi ku mobile money gwakulinya okutuuka ku bitundu 15% okuva ku 10% gyegubadde, songa nekubajja ensimb ku accunt zaabwe bwegugenda okuba.
Mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2018-/9, gavumenti yalambise nti eyagala okusolooza ensimbi obwesedde 29 n’obuwmbi 300 wabula nga obwesedde 15 kuzino bwakuva mu misolo