Ebyobusuubuzi
Ebikwekweto ku batembeeyi
Ekitongole kya Kampala capital city authority kikoze ebikwekweto ku batembeeyi abeyiye ku nguudo okweyolera ku mudidi nga batunda ebyamaguzi mu naku zino enkulu ezikubye koodi .
Bano kati obubudamu babadde babufunye ku mbalaza z’oluguudo lw’enakivubo nga okusinga bano baali bakolera mu katale ka park yard akaggya gyebuvuddeko.
Nga bwebagamba nti akufumbira eyebigere omufumbira yamutwe nemwenkanya evvumbe, abatembeeyi bano nabo kati bazanya gyangu onkwekule nabakwasisa amateeka aba KCCA era bwebalaba nga bavuddeyo nga baza ebyamaguzi ku mbalaza okwekolera ku ssente.