Ebyobusuubuzi
Ebyenfuna ssi bibi nnyo
Nga ebula mbale omukulembeze w’eggwanga ayogereko eri eggwanga abakugu mu by’enfuna bategezezza nga eggwanga bweritakola bubi nyo mu byanfuna nga abamu bwebagamba.
Bwiino okuva mu Banka enkulu alaga nti eggwanga likuze ebitundu 5% yadde nga abasing baali balisuubira kukulira ku biyundu 6%.
Omukugu Elly Twineyo agamba ebiseera by’enfuna by’eggwanga bitangaavu nga n’amagoba banka enkulu kwewolera gaze gakka.
Wabula ye ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala Everest Kayondo bino byonna abiwakanya era agamba nti pulezidenti museveni bwaba ayogerako eri eggwanga akirize nti ebyenfuna by’eggwanga byakonziba dda era pulezidenti alina okubaako nekyakola ku nsonga eno.