Ebyobusuubuzi
Embalirira ezunza ababaka emitwe
Nga eggwanga lyetegekera okusomebwa kw’embalirira y’eggwanga wiiki ejja, bannayuganda bangi bakyatakula emitwe nga tebagitegeera bulungi.
Mu tteeka eppya embalirira y’eggwanga eyawuddwamu emirundi 2 nga esooka ey’obusiriivu 16 zigenda okukozesebwa mu nkulakulanya ezijja nga era zezigenda okuyisibwa palamenti.
Obusiriivu 7.9 zakulabirira bitongole bya gavumenti ebyatondebwawo mu mateeka nga zino palamenti ezimanyaako naye teziyisa .
Amyuka ssentebe w’akakiiko akakola ku mbalirira y’eggwanga Amos Lugoolobi agamba mu busiriivu 23.9 essira bagenda kuliteeka ku mbalirira y’obusiriivu 16 .
Ebimu ku bitongole bya gavumenti ebigenda okuganyulwa mu busiriivu 7.9 kuliko akakiiko akatekebwawo okulwanyisa siriimu, akakiiko akaddukanya palamenti wamu n’okusasula amabanja ga gavumenti.