Ebyobusuubuzi
Embalirirwa ya 2018-2019 eyisiddwa palamenti .
Bya Samuel Ssebuliba.
Palamenti olwaleero eyisizza embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2018/19 nga eteredwamu omwesedde 32 mu obuwumbi .
Embalirirwa eno eyisiddwa erimu obwesedde 9.400 nga zino zakudukanya emirimo gya government, Obwesedde 13 zabyankulakulana, songa obwesedde 10 zakudukanya bitongole bya government.
Wabula ye minisita akola ku by’ensimbi Matia Kasaija asabye ababaka ba palementi okubeera abasaale mu bitundu byabwe bakakase nga ensimbi zino zituka era zikole emirimo.
Engabanya:
Ministry ekola ku by’enguudo efunye obwesedde 4 n’obuwumbi 700.
Ministry ey’amasanyalaze efunye obwesedde 2 n’obuwumbi 400.
Eby’enjigiriza bifunye obwesedde 3 n’obuwumbi 100.
Eby’okwerinda bifunye obwesedde 2 n’obuwumbi 100
Eby’obulamu bifunye obwesede 2 n’obuwumbi 300
Eby’obulimi biweredwa obuwumbi 914
Ministry ekola ku byamazzi ewereddwa akeeseddwa bwesedde 1. Obuwumbi 200
Parliament ewereddwa obuwumbi 459