Ebyobusuubuzi
Emotoka zimazeewo obutonde bwensi.
Bya samuel ssebuliba
Government esabidwa okuwaayo ebitundu 30% ku nsimbi z’esoloza mu motoka enkadde zigende eri ensawo eyatekebwaawo okulwanirira obutonde bwensi emanyiddwa nga environmental fund.
Mukaseera kano government esolooza wakati w’ebitundu 25%- 50% okuva ku motoka enkadde nadala zino entono , songa zo loole mpaawo azinyega.
Twogedeko ne Nelly Busingye nga ono yaakola ku by’emirimo mu kitongole ekya SEATIN-Uganda n’agamba nti mukaseera kano obutonde bwensi bugwaawo nga mpaawo ayamba, songa zino ensimbi zandibadde ziyamba mukusimba emiti.
Ono mungeri yeemu agamba nti eky’okuleka emotoka enene nezitagibwako musolo nga guno sikyabwenkanya kubanga zezisiga n’okuvaamu ebikka eby’obulabe.