Ebyobusuubuzi
Gavumenti eri munteekateeka zakudabiriza olukuubo lw’eggaali y’omukka
Bya Prossy Kisakye
Oluguudo olw’eggaali y’omuka oluyitibwa Standard Gauge Railway sirwakuyimirira nga bw’ebibadde by’ogerwa wabula lw’akusirisamu akaseera katono okwongera okw’ekaanya engeri y’okulugusa mu bwangu ddala okutumbula entambula y’eby’amaguzi n’abantu mu Uganda ne Kenya.
Bino by’ogeddwa Minisita avunamyizibwa ku nguuddo n’eby’entambula Monica Azuba Ntege, bw’abadde alambula olukuubo lu Northern Corrido olusangibwa ku nsalo ya Uganda ne Kenya.
Kenya wetwogerera ekitundu kyabwe ku olukuubo lu Northern Corrido kinateera okujjibwako engalo wabula bakusooka bayimirizemu nga webalinda Uganda ekole ekitundu kyaayo.
Azuba Ntege agamba nti bali mu kusala magezi okulaba nga olukuubo luno okuyimirira tekikosa basuubuzi mungeri yonna.
Wano wasinzidde nategeeza nti Gavumenti eri mu nteekateeka ya kulongoosa oluguudo olw’eggaali y’omukka ekitundu ekiri mu Uganda kitukagane n’omutindo.