Ebyobusuubuzi
Gavumenti evudeyo ku balimi n’ababbi ba Vanilla
Bya Prossy Kisakye
Minisitule y’eby’obulimi n’obulunzi etadewo ebiragiro ebikkakali wamu n’engasi eri abalimi ba vanilla kko n’abamubba mu nnimiro.
Bino by’asanguzidwa mu lukugaana lw’abamawulire olutuzidwa minisita omubeezi ow’ebyobulimi Christopher kibazanga.
Kibazanga agamba bakizudde nti buli ebisale bya vanilla lwe birinya n’abamubba nga beyongera kwossa n’abalimi aba mukungula nga muto ekivirako omutindo gwa vaniila ava mu uganda okuka.
Kati gavumenti etadewo engasi ya mitwalo ena oba okusibwa emyezi 6 singa kakutanda n’osangiibwa nga obbye vanilla.
Mungeri y’emu n’abalimi abakungula vanilla atanatuuka sibakukkirizibwa ku muntunda ebweru w’egwanga ne katale kawano wakuwerebwa