Ebyobusuubuzi

KCCA etegese ebikujjuko bye mmere

KCCA etegese ebikujjuko bye mmere

Ivan Ssenabulya

August 20th, 2019

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ekitongole kya KCCA nga kikwataganye ne banamikago okuli My Food Network, kitegezezza ngabwekitegese ekikujjuko kye mmere ekisokedde ddala, kyebatuumye Kampala Foodie Street.

Kanivo eno mu lunyanyimbe yakubaawo nga 7 Sebutemba ku parliamentary avenue mu Kampala, nga kigendereddwamu okwolesa emmere yabanna-Uganda okwongera okusikiriza abalambuzi.

Akulira ebyenjigiriza nobuwereza obukwata ku mbeera zabantu mu KCCA, Juliet Namuddu agambye nti abantu ngamakumi 30, bebasubirwa okwelesa emere, naddala etera okutundibwa ku makubo mu Uganda naddala e Kampala.