Ebyobusuubuzi

Okuseka ddagala

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Laughter good

Obadde okimanyi nti okuseka kya mugaso nnyo eri omuntu?

Ng’ogyeeko eky’okugatta abantu abali mu ssany,u enseko zikuuma omubiri nga mulamu bulungi

Eky’enjawulo nti lino bweriba ddagala terigulwa era ng’omuntu wa ddembe okwekuumira mu bulamu bw’ensi nga musanyufu oba ng’asibye feesi.

Enseko ziyamba okwongera omuntu obutofaali obulwanyisa endwadde, zongera amaanyi ,zikendeeza obulumi  kko n’okukendeeza okukunyigirizibwa ku bwongo giyite stress.

Mu ngeri yeemu buli muntu lw’aseka ayongera okuweweeza omutima nga kivaako omusaayi okutambula obulungi.