Ebyobusuubuzi

Omusolo gukaabya abatunda omwenge

Omusolo gukaabya abatunda omwenge

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

File Photo: Ekorelo lyo mwenge

File Photo: Ekorelo lyo mwenge

Omusolo ogwalinyisibwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka guno erabise ng’etandise okukosa abasuubuzi b’omwenge.

Bino bibadde mu musomo ogubadde guwaniriddwa ekitongole kya Nile Breweries e Mubende okubangula abasuubuzi engeri gyebalina okuyisaamu bakasitoma baabwe

Avunaanyizibwa ku by’ettunzi n’enkulaakulana ya Nile Breweries Ronald Mayanja agambye nti omwenge gwaabwe gavumenti yagussaako omusolo gwa bitundu 30%, nga guno gulina kuggwera ku basuubuzi bano.

Bbo abatunzi b’ebbaala betwogeddeko nabo bagamba nti bafaayo nnyo okwegendereza ba kasitooma  baabwe ng’obutaguza mwenge ba mbuto, abagoba b’ebidduka kwossa abaana b’amasomero, wabula olw’ebbula ly’ensimbi beesanga nga bakikoze.