Ebyobusuubuzi
Omwalo gwe Kiboto bagugadde
Bya Prosy Kisakye
Abakulira eby’obuvubi mu disitulikiti ye Kalangala bagadde omwalo gwe Kitobo mu ssaza lye Ssese, nga kati abavubi bali mu maziga.
Abavubi bagamba nti mu kiseera kino tebakyalina kyebakola okujako okutuula obutuuzi, nga wano basabye gavumenti ebadiremu.
Akulira eby’obuvubi mu disitulikiti ye Kalangala Capt. Nathan Abaho ategezezza ngabavubi ku mwalo bwebadde benyigira mu nvuba emenya amateeka.
Kati omubaka omukyala owa disitulikiti ye kalangala Aidah Nabayiga akubiriza abavubi okugondera amateeka agafuga eby’obuvubi.