Ebyobusuubuzi
Sukaali adibye
Sukaali abalirirwamu ttaani 50,000 nga abadde alina kutundibwa mu ggwanga lya Kenya akyafa tulo lwa miziziko gy’ebyobusuubuzi mu ggwanga eryo.
Omu ku basuubuzi basukaali ono okuva mu kkolero lya Madhvani Jim Kabeho agamba sukaali akyabadibiridde abalirirwamu obukadde bwa ddoola 3 bulambirira.
Kabeho agamba bannakenya bataddewo nyo kiremya okukkiriza sukaali wa Uganda okutundibwa munda mu ggwanga lino.
Wabula omukungu okuva mu kitongole ekiwooza ekya Kenya, Beatrice Memo yeebuzizza lwaki Uganda ekyagenda mu maaso n’okusuubula sukaali okusukka mu kitundu kya East Africa
Kati bano basisinkanye banaabwe abe Uganda okusalawo ku kiyinza okukolebwa
Omukungu mu kitongole kino mu Uganda Richard Kamajugomukakafu nti bajja kutuuka ku kukkaanya okulaba nti tebaddamu kufuna ate kwemulugunya ku sukaali adibye.