Ebyobusuubuzi
Temusasula abasuubuzi ab’empewo-CSBAG
Bya Prossy Kisakye, Ekiibiina ky’obwannakyewa ekirondoola ebyembalirira ki Civil society budget advocacy group kisabye gavumenti waberewo akakiiko ak’enjawulo kaweebwe ekatala ery’okubalirira n’okukakasa abasuubuzi bameka abalina okuliyirirwa gavumenti oluvanyuma lw’okufiirwa emmaali yaabwe mu lutalo olwali mu ggwanga lya south sudan mu 2013.
Mu mwaka gwa 2013 gavumenti ya South Sudan ne ya Uganda batuuka ku nzikkiriziganya nti bannauganda abafiirwa ebyabwe mu ggwanga eryo balina okuliyirirwa wabula nga south sudan terina sente nesaba ginayo eya Uganda okubasasula noluvanyuma yyo esasule Uganda.
Nga ayogerako eri bannamawulire mu kampala senkulu wekibiina kino Julius mukunda ategezeeza nga bwewasanye okubaawo omubalirizi owenjawulo nga siwa gavumenti okumanya bamenya na nsimbi meka ezirina okuweebwa abasuubuzi bano.
Amakampuni 129 gegabanja gavumenti wabula gavumenti yakaliyirirako amakampuni 10 gokka n’obuwumbi 41.