Ebyobusuubuzi

UNBS erabudde ku bizigo byebawera

UNBS erabudde ku bizigo byebawera

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ekitongole ekirondoola omutindo gwebyamaguzi ekya Uganda National Bureau of Standards kyongedde okunyweza ekoligo, lyebateeka ku bika byebizigi 50 ebiirmu ekirungo kya mercury ne hydroquinone.

Omwogezi wa UNBS Barbara Kamusiime agambye nti ebizgo bino, byabulabe kubanga byerusa atenga byinza nokuvaako ebirwadde byolususu.

Ono awakanyizza nebigambibw anti ebimu ku bizigo bino, daaki baabikirzza bitundibwe ku katale.

Kuno kuliko ne ssabuni wa Rico, Mekako, Top Claire lotion, Beauty Lotion, Claire Cream, Fair & White Lightening Cream, sabuni wa Lady Claire nebirala.