Ebyobulamu

Ayise ku lugwaanyu

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

WOman survives death

Mu ggwanga America  omukazi awonedde watono okujibwamu ebitundu bye ebyomunda bwazuukuse nga abasawo bamubaaze batandika okubijamu.

Colleen Burns41- yatwaaliddwa mu ddwaliro ku lunaku lwa sande oluvanyuma lwokumira amakerenda nagamukanula.

 

Oluvanyuma abasawo baategeezezza nga omukyaala ono bweyabadde omufu, olwo nebajawo ebyambe namakansi nebatandika okumubaaga.

Nga tebanamaliriza nakyaala ono azibudde amaaso olwo abasawo nebibasobola.

Abasawo bategeezezza nga bwebabadde bagenda okumujamu, ekibumba, nensigo babigabire abantu abatawanyizibwa obulwadde bwebitundu ebyo.