Emizannyo

Abayimbi 3 abasinga okusanyusa mu Uganda

Muwagizi waffe

August 12th, 2021

No comments

Ekisaawe ky’okuyimba mu Uganda, kyekimu kwebyo omuli abayimbi abenjawulo era abasanyusa, era abewaddeyo okuyitimusa okuyimba okutuuka mu Africa wonna.

Mu mboozi eno, tutunuliidde abamu ku bayimbi emunyenye mu Uganda olwa talanta gyebalina nebyo byebayiseemu okubaako webatuuka.

…Grace Nakimera

Waliwo bingi ebibogerwako ebinyuma, okugeza ng’ebya Grace Nakimera. Ono munnaYuganda, yatandika okuyimba ku myaka 7 era okuva olwo taddanga mabega.

Nakimera muzaale wa Kampala, era yatandika okuyimba ku bivvulu ebitali bimu ku kyalo, ngali muto ddala.

Bweyaweza emyaka 18, yegenda e Rwanda naberayo emyaka 2, yayimba mu Resident band ku Mille Colin Hotel e Kigali, woteeri eyakozesebwa mu firimu ya Hotel Rwanda.

Oluvanyum lwokwolesa talanta ye’Kigali, yakomawo mu Uganda natandika okuyimba mu kwaya, ku kkereziya ya Christ the King.

Ng’abayimbi abalala abatandika, Nakimera yali yetaaga oluyimba olunamuyisaamu abamu kyebayita ‘Hiiti’ era yasobola okukikola mu mwaka gwa 2004.

Yakuba oluyimba neba Gatimo and Paragon olwayitibwa “Ani Akumanyi”, olwanyumira ennyo banna-Kampala.

Oluyimba luno lwawanika Grace Nakimera okudda waggulu, era nebawangula ekirabo kyabayimbi abato mu mpaka za Pearl of Music Awards mu mwaka gwa 2004.

Oluvanyuma, Nakimera yetenherera natandika okuyimba yekka nafuuka emunyenye.

… Gravity Omutujju

Omuyimbi omulala, addako ku lukalala ye Gravity Omutjju.

Gereson Wabuyi, yoomu ku bayimbi abatontomi mu Uganda abanyuvu ngayimba ekika kya myuziki gwebayita Luga Flow.

Ono okusinga ayimba mu Luganda, wabula amanyiddwa mu bitundu bya Uganda byonna.

Ono yeyita kabaka wa Luga Flow mu Uganda, yakulira mu migotteko gye Kiwunya e Nakulabye, mu divizoni ye Rubaga.

Mu myaka egyemabega, Wabuyi yalaga ekitone mu mupiira era yalina ekirooto okufuuka nakinku mu kuzannya omupiira nga kyeyali asinze okutunuliira nti oba oli awo alifuuka omuwuwuttanyi owerinnya.

Wabula gyebyagwera ng’okuyimba kumuttte wala.

Waddeng yasamba omupiira, Gravity yatandika okuyimba mu ssomero, ku ssekondule era natandika okufuna etutumu mu mwaka gwa 2011.

Okuyitamu kwe kwaliwo mu mwaka gwa 2013, bweyaddamu oluyimba lwomugenzo Prince Job Paul Kefeero olwa Walumbe Zaaya, era okuva olwo teyadda mabega.

Gravity asunsuddwa mu mpaka n’okuvuganya okwenjawulo era nawangula, engule eziwerako.

Yayimba ku bivvumu ebyamaanyi 3 era yasobola okwetunda mu bantu, era okuva olwo tewali kiremesezza emunyenye ya Luga Flow okugenda mu maaso.

… Irene Ntale

Ntale amanyiddwa olw’ekikya kya myuziki wa R&B, Reggae ne acoustic soul Sound, eyamututumula.

Ntale yatandika olugendo lwe mu kuyimba ku myaka emito, nga yatandikira mu kwaya y’ekkanisa gyeyayigira n’okusuna endogo.

Yatandika okusuna endongo ku bivvulu, n’okuddamu ennyimba zabayimbi abenjawulo.

Okuyitamu n’okumanyika kwa Ntale kwaliwo mu mwaka gwa 2019, bweyateeka omukono ku ndagaano naba Universal Music Nigeria, nafuuka MunnaYuganda eyasooka okukitukako.

Kati okulamula Myuziki wa Uganda nabo abatono benokoddeyo, kimala okukulaga nti wabaddewo olugendo atenga bingi ebikyali mu maaso.

Emboozi eno ewagiddwa TRANO